Okukebera enkalala: Mu bitundu ebimu abantu tebannajjumbira bulungi
Ennaku kati ziweze munaana bukyanga kakiiko ka byakulonda katandika kutimba nkalala z’abalonzi n’ekigendererwa eky’okulambika okulonda kwa 2026 kuleme okubaamu ebirumira. Kyoka mu bitundu ebimu byetutuuseemu abakulembeze batubuulidde nti abantu batono abamanyi ku ntekateeka eno, kyoka nga ekisinga okubennyamiza nti amannya g'abantu bebamanyi nti baafa ate bagasanga ku lukalala nga galagiddwa nga abakyali abalamu. Akakiiiko k'eby’okulonda kaanukudde.