OKUBUNYISA ENJIRI: Eklezia eriko kaweefube gw’etandise
Abakulembeze ba eklezia katolika mu gwanga bakwebuuza ku bakristu be batwaala ku ngeri y’okugyezaamu eklezia okusobola okugenda mu maaso n’okubunyisa enjjiri. Enteekateeka eno egenda kutambulirira mu nkola ey’enjawulo emanyiddwa nga synod era nga yakukulungula emyaka ebbiri. Ebinaaba bivudde mu kwe buuzaganya kunno bya kwanjulwa mu lukugaana olwawamu olugenda okutuula mu Roma mu 2023 nga lukubirizibwa Paapa Francis.