OBULUMBAGANYI KU POLIISI: Waliwo abeegezezza mu ye Nakulabye
Poliisi etegeezezza nga bwerinnye eggere mu lukwe olwabadde lugenderera okulumba Poliisi ye Nakulabye mu kiro ekikeesezza olwaleero. Abantu bano nakati poliisi bewenja babadde tebanatuukiriza bigendererwa byabwe poliisi nebalabuukirira newandagaza amasasi , era nesobola okubasuuza Magazine y'emmundu. Kino wekijjidde nga waakayita olunaku lumu lwokka nga omukuumi w'ekitongole ky'obwannanyini alumbiddwa abazigu mu bitundu by'emagere e Kasangati natemebwa nemmundu ye nebagitwala era ng’ali mu ddwaliro e Mulago.