Mwetegereze bulungi ensonga: Abavuba mukene nabo bavuddeyo ku biboogerwako
Abavubi ba mukene okuva mu disitulikiti y’e Buvuma basabye minisitule evunaanyizibwa ku buvubi ekole okunoonyereza okumala ku bigambibwa nti bakendeezza empuuta mu nnyanja olw'okuvuba mukene Bano basinzidde ku byayogerwa abavubi b'empuuta abeegattira mu kibiina ki AFALU gyebuvuddeko abategeeza nti abavuba mukene bandimalawo empuuta singa gavumenti tebakomako Bino abavubi bamukende babiyise byakubasiiga nziro kubalemesa mulimu ogubayimirizzaawo ebbanga.