MOTOKA YA KYAGULANYI: Ataddewo obukwakkulizo ku URA okugyekebejja
Robert Kyagulanyi Ssentamu nga ono yesimbawo ku bwa Pulezidenti mu Kalulu akaakagwa ategeezezza kkooti nga nga kati bwakkiriza mmotoka ye egambibwa obutayitibwamu masasi okwekebejjebwa ekitongole ky’ebyomusolo, wabula nga kino kirina kukolebwa mu makaage e Magere, nga naye waali. Kino aba URA bakigaanye, nga kati kkooti yakusalwo ekyenkomeredde ku nsonga eno nga mukaaga April omwaka guno