Ministule y'ebyettaka ya kuleeta AI okunyweza kaweefube ow'okuziyiza ekibba ttaka
Ministule y'ebyettaka eri mukaweefube wokuleeta tekinologiya omulala gwebayise Block Chain kko n'owa AI, agenda okunyweza kaweefube waabwe ow'okuziyiza ekibba ttaka ekifuuse baanabaliwo Okusinziira ku Minisita we byettaka, Judith Nabakooba techologiya ono alimu n'okufuna ebinkumi bannyini ttaka okusobola okumalawo ebyokuccupula ebyapa n'okugingirira ebiwandiiko byonna ebyenkuusa ku bwannanyini ku ttaka Mu nteekateeka eno minisitule y'ebyettaka ya kukolagana nebitongole bya government ebyenjawulo okuli ekikola kundaga muntu, n'ekye byatekinologiya ki ICT.