Lwaki Museveni ayanguyirwa okuvuba ab’oludda oluvuganya
Eky'ebibiina by'obufuzi ku ludda oluvuganya okuba ebinafu mu by'enfuna kyekimu ku binokoddwawyo nga ekivuddeko bammemba baabyo naddala ab'enkizo okusala eddiro okudda mu NRM Abatunuulira ensonga z'ebyobufuzi bagamba nti obwavu bwa bannabyabufuzi mu bibiina bino bibaviirako okuddukira mu NRM okusobola okwebezaawo.