Lwaki emisango egy’okwemulugunya ku kulonda gigobwa?
Abakugu mu mateeka bagamba nti ekya kkooti okugoba emisango egy’okwemulugunya ku kulonda si kipya era nga kibaddewo. Wabula bano balowooza nti ba puliida bebasinga okuvaako obuzibu bwetatekateka bulungi biwandiiko byebatwala mu kkooti okuli n’obujjulizi. Bakkaanya nti emisango gy’okulonda nagyo gitambulira ku bujulizi nga emirala, era nga webutali omuntu tabana musango.