KITALO! Abaana babiri bafiiridde mu kidiba
Enjega ebuutikidde ekyalo Nsozi-bbiri mu ggombolola y'e Kalamba mu district y'e Butambala, abaana babiri ab'obuwala bwebagudde mu kidiba ky'amazzi nebafiirawo.Kitegeerekese nti abaana bano baabadde bagenze kutyaba nku mu kibira ekisangibwa ku kyalo Mogojja wabula bwebasanze ekidiba kwekusalawo basooke bawugemu.