Kiryowa Kiwanuka akakasizza abantu be Mubende nti agenda kwezza emisango gy'ettaka egiri mu kkooti
Ssaabawolerezza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka akakasizza abantu be Mubende nti agenda kwezza emisango egiri mu kkooti nga gyekuusa ku by'okugobaganya abantu ku ttaka, ono agamba kino kigenda kuyambako okukendeeza obunkenke mu bantu ssaako okubasobozesa okutambuza emirimu gyabwe. Bino Kiryowa abyogeredde oluvanyuma lw'omubaka wa Buwekula South Okutiisatiisa nga bwegenda okugenda mu kkooti okuwaabira abebyettaka e Mubende olwokugaba liizi ku ttaka nga kutuddeko abantu ekintu ekikontana n'amateeka Bino bibadde Mubende ku mukolo gwo kubunyisa engeri yokwagaza pulezidenti Museveni mu bantu ba Buganda.