Kiryowa Kiwanuka agamba endagaano ku mmwaanyi tesobola kusazibwamu
Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka agamba kizibu okusazaamu endagaano gavumenti gye yakola ne kampuni ya Vinci Coffee Company eyeeyama okwongera omutindo ku mmwaanyi za kuno. Kiwanuka agamba buli kimu kyakolebwa mu mateeka era talaba na nsonga lwaki abalimi balumwa emitwe olw’endagaano eno. Kiwanuka ne minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija babuulidde akakiiko ka palamenti akali ku nsonga nti kyali tekyetaagisa kwebuuza ku balimi bonna ku ndagaano eno kubanga baali beebuuzizza ku kitongole ki Uganda Coffee Development Authority wadde nga ab’ekitongole kino babuulira akakiiko nti tewali muntu yenna yali abeebuuzizzaako ku ndagaano eyakolebwa - nabo babisoma mu mawulire.