Gavumenti etongozza okukola oluguudo mwasanjala oluva e Kihuura okuyita e Bwizi,
Gavumenti etongozza okukola oluguudo mwasanjala oluva e Kihuura okuyita e Bwizi, Rwamwanja okutuuka e Kahunge mu district ya Kamwenge nga lwa Kilometer 68 ne Mpara okutuuka e Bwizi nga lwa kilometer 37Oluguudo luno lwakuyunga enkambi z'ababundabunda ssatu okuli Rwamwanja, Kyaka 1 ne Kyaka 2Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yatongozza omulimu gw'okukola oluguudo luno ku lw'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni.