Eyattiddwa e Lwengo aziikiddwa, abenganda baagala bwenkanya
Omuvubuka w’e Lwengo Stuart Kakooza eyakubiddwa omugagga Henry Seremba emiggo egyamuviiriddeko okufa aziikiddwa ku biggya bya ba jajja be e Kamusenene-Lwengo. Kati ab’oluganda lwa Kakooza basabye Poliisi okubayambako okukwata n’okuvunaana omutemu kuba ssi gwe gusoose okutuusa obulabe ku bantu baabwe.