Eyatomerwa mmotoka y’amagye agamba ez’okwongera okumulongoosa zibuze
Phionah Rukundo, omuyizzi eyatomerwa mottoka y’amagye omwaka oguwedde ayagala obukadde buna okuddamu okulongoosebwa. Yadde ng'akubye ku matu Rukundo agamba nti akyalina obulumi obwamaanyi wabula ng'abamutuusa ku kino negyebuli eno tebannamudduukirira. Amagye galiko byegataangaazizza ku nsonga eno.