ENTAMBULA Y’OKUMAZZI: Abasaabaze bakonkomalidde ku MV Kalangala
Abasaabaze ababadde basaabalira ku mmeri ya MV Kalangala eggulo bakonkomalidde ku mmeri e Nakiwogo mu entebbe okumala akaseera oluvanyuma lwa meeri okukutukako ekipapajjo abntu kyebakozesa okufuluma. (docking ramp) Wadde nga oluvanyuma ab’emmeri bayambye abantu okubajako wabula eby’amaguzi saako emmotoka zasigaddeko okutuuka budde kuziba . Abantu abaabadde e Kalangala n’abo baakonkomadde okutuuka ekiro emmeeri endala lweyaze n’ebatwala. Wetwogerera nga emmeeri eri mu kuddaabirizibwa.