ENKALU KU BUKONGE BW’OBULULU: Ab’akakiiko balagiddwa okuwa bannayuganda emirimu
Kizuuliddwa nti akakiiko k’ebyokulonda tekaali kenkanya mu kunoonya abanakola omulimu gw’okukubisa obukonge obwokukozesa mu kalulu ka 2021 nga kampuni zakuno zibadde zisuuliddwa bbali. Akakiiko akavunaanyizibwa ku bigulibwa n’ebitundibwa mu gavumenti kati kalagidde akakiiko k’ebyokulonda okukozesa kampuni za kuno mu mulimu guno ogubalirirwamu obuwuumbi 77. Kampuni zino zasooka kwekubira nduulu mu kakiiko kano nga ab’ebyokulonda emirimu gyonna bagiwadde kampuni ngwira