ENGUUDO Z’E CONGO: Ziizino ezikyalemesezza ttanka okutuuka ku nfo za ADF
ABA UPDF abali e Congo okulwanyisa abayeekera ba ADF basuubira nti mu nnaku ntono eziddako bagenda kumaliriza okusenda enguudo omunaayita ttanka ennwaanyi. Nga bwe balima amakubo, aba ADF nabo banoonya makubo gabaggya mu bitundu mwe baali basiisidde olw’okubuna emiwabo.