Empaka za Olympics ziguddwawo mu butongole
Empaka z’emizannyo gya Olympics ez’omwaka guno zigiddwako akawuwo mu butongole olunaku lwaleero mu Kibuga Yokohama mu ggwanga lya Japan wakati mu bwerinde obwekirwadde ki COVID 19. Uganda emu ku mawanga agasoba mu bikumi ebibiri agayisiza ekivulu olwaleero mu kisaawe ekitabaddemu bawagizi olw’okutya okusasana kwa COVID 19.