EMPAKA Z’EBIKA: Mbwa yeggulawo n’engo
E kika ky’embwa kyekigenda okuggulawo empaka z’ebika bya baganda ez’omwaka guno bwebanaaba batunka nab’engo nga kumi nalumu omwezi ogujja ku kisaawe kye Kasana mu district y’e Luwero. Empaka zino zakusoka kuzanyirwa ku mulamwa gwa kusirisizawo okutuusa lwezinazigalamu ttimu kumi namukaaga ezinakolebwaamu ebibinja. Katikiiro Charles Peter Mayiga yatongoza empaka z’omwaka guno n'asubiza nti kumurundi guno obwakabaka nabwo bwakusaamu obukadde 130 okuyambako mu ntekateekateeka.