EBBULA LY’AMAZZI E IBANDA: Abaayo bali mu kusoberwa, beekubidde enduulu
Abatuuze abawangaalira mu municipaali ye Ibanda kwossa nebitundu ebyesudde bali mu kusobewa olw'ebbula lyamazzi. Embeera eno tekosezza batuuze mumaka bokka, wabula namalwaliro kwossa nabaddukanya business ezenjawulo, mu kiseera kino abayita mu bugubi olw'embeera eno. Abalala abaasalawo okwesimira ebidiba nabo bagamba nti amazzi gaamu makyafu ekibateeka mu mattigga g'okufuna endwadde eziva ku bukyafu.