Brig. Gen. Stephen Kiggundu: Amagye gagamba abadde mukugu mu kubonga ennyonyi
Amagye ga UPDF gategeezezza Nga bwegafunye eddibu ery’amaanyi oluvannyuma lw’okufa kwa Brig. Gen. Stephen Kiggundu abadde amyuka omuduumizi w’amagye agalwanira mu bbanga. Omwogezi w’amagye Brig. Gen. Felix Kulaigye agambye nti omugenzi abadde mukugu mu kubonga ennyonyi ng’abantu abalina obukugu bw’abadde nabwo saako obumanyirivu ssibaangu baakutendeka. Brig. Gen. Kigguddu okusinziira ku magye, yafiiridde mu kinaabiro oluvannyuma lw’amasannyalaze okumukuba.