Bobi Wine awandiikidde ab’ebugwanjuba ku by'obusosoze mu mawanga
Akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aliko ebbaluwa gy’awandiikidde abakulembeze ne bannabyabufuzi ab’enkizo mu bitundu by’obugabe bwa Ankore ne Kigezi ng’abasaba abasitukiremu ku nsonga z’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba gw’agamba nti yefunyiridde ku kyokusasaanya obubaka obwawulayawula mu mawanga n’okusiga obukyayi. Ono ayagala basitukiremu ku nsonga eno, kuba akadde konna eyinza okuvaako okuyiwa omusaayi naddala wakati w’abava mu buvanjuba bw’eggwanga, n’ebitundu ebiwulira nti birengezzebwa ebigambo byomukulu ono.