AWAADI Z’OMWAKA: Byaruhanga ne najjemba bawangudde
Bobosi Byaruhanga omuzannyi wa Vipers ne Uganda Cranes ye yawangudde ekirabo ky’emotoka ne awaadi ya Airtel Fufa Award ey’omwaka guno. Aziz Kayondo owa Vipers ne Eric Kambale owa Express nabo olwokaano okwalondeddwa omuwanguzi balubaddemu. Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah ye yakwasizza abawanguzi ebirabo. Mu bakyala, Fauzia Najjemba, ye yawangudde ekuy’omukyala sinze omwaka guno.