Akatuubagiro ku musolo: Ensisinkano y’ababaka, ab’emisolo n’abasuubuzi tevuddeemu kalungi
Abasuubuzi, ababaka ba palamenti ne ba minisita okuli ow’ebyobusuubuzi n’webyensimbi bawukanye tebategeeraganye ku nsonga y’obudde mwebanaatuukira kukukkaanya ku nsonga eziviiriddeko abasuubuzi okuggala amaduuka gaabwe. Olwaleero ziweze enaku satu nga baggadde amadduuka nga abwakanya enkola ye EFRIS eyaleetebwa ekitongole ekiwooza omusolo ki URA saako n’ensonga endala ezikosa Obusuubuzi. Abakulu bano babadde basisinkanye ku Palamenti okutema empenda ku ngeri gyebagenda okumalawo okwerumalumaluma kuno kyokka gyebigweredde nga tebakiriziganyiza era ensonga zijjulidde Pulezidenti asuubirwa okubasisinkana olunaku lw'enkya.