AKALULU E KAYUNGA: Okusunsula abaagala ekya ssentebe kukoma nkya
Abantu babiri olwaleero beebasunsuddwa okuvuganya ku kifo kya Ssentebe wa District ye Kayunga nga kuno kubaddeko Harriet Nakwedde owa NUP saako Magidu Nyanzi atalina kibiina oba Independent. Wadde abaddukanya eby’okulonda mu kitundu kino babadde basuubira okusunsula abantu bataano, tekisobose. Wabaddewo obutakaanya obutonotono wakati w’abyebyokwerinda n’omubaka omukyala wa district eno Aidah Nantaba bwe babadde bamulemesa okuyingira webasunsulira abesimbyewo , olwobutaba na masiki.