AKABENJE AKAAGWA E KAMULI: Abakafa kati baweze 9
Poliisi e Kamuli etegeezezza nga namba y'abantu abakafa nga kiva ku kabenje akagwawo ku lw’omukaaga bwerinnye nga kati bali mwenda .Emu ku mmotoka ezaali ziwerekera Kyabazinga nga ayolekera e Bugembe okugattibwa yasaabala abantu mu kitundu kye Nawantambi ku luguudo oluva e Kamuli okudda e Jinja , mukaaga nebafiirawo ate abalala munaana nebatwalibwa mu ddwaliro nga bali bubi .