Abavubuka ba “Kikankane” boogedde ebyabasuubizibwa omukulembeze w’eggwanga
Ssabiiti ewedde, waliwo ekibinja ky’abavubuka abeeyita ba Kikankane abaasisinkana omukulembeze w’eggwanga, nga balaga nti basaze eddiiro okuva mu kibiina ki NUP ekikulemberwa Robert Kyagulanyi. Okusala kwa bano kuleseewo okwerumaluma ku ludda oluvuganya, nga NUP egamba tebamanyi, so nga eyali omubaka wa Kawempe South eyatandikawo ekibinja kino Mubarak Munyangwa avunaana NUP okubalagajjali.