Abakyala mu bukulembeze basabiddwa okuvuganya n’abasajja
Abakyala abegwanyiza obukulembeze na ddala ku mutendera gwa palamenti basabiddwa okuvuganyanga obutereevu ku bifo bino okusinga okwesiba ku kifo ky'omubaka omukyala ekibaweebwa obuweebwa mu ssemateeka. Mu kiseera kino palamenti erimu abakyala 15 bokka nga baalondebwa butereevu. Bino byogereddwa ku palamenti, abakyala mu biti eby'enjawulo webakungaanidde okwogera ku nsonga ezibakwataako ng'eggwanga lyetekateekera okujaguza olunaku lw'abakyala olunabaawo nga 8 omwezi guno.