Abagoberera ensonga mu ggwanga balabudde nti omulimu gwa bannamawulire gwandifuuka ogw'obulabe
Abagoberera ensonga mu ggwanga balabudde nti omulimu gwa bannamawulire guyinza okufuuka ogwobulabe okukola naddala mu maseera kano nga okulonda kwa 2026 kusemberera, ssinga ebitongole ebikuuma ddembe tebiikomye bwa kagoggo. Bano bagamba nti bwebatunuulira ebyali mu kulonda kwe Kawempe okwakaggwa, biraga nti ekirindiridde bannamawulire kyandiba ekinene okukira ku byaliwo. Kyoka yo gavumenti egumizza bannamawulire nti gavumenti yakufuba okukuuma eddembe ly’obuntu omuli ne bannamawulire. Bino byogeddwa ku kwefumiitiriza ku ddembe lya bannamawulire okutegekeddwa abagasakira ku palamenti y'e ggwanga wansi w'ekibiina kyaabwe ki Uganda Parliamentary Press Association.