Aba famire y'omusomesa wa Seeta eyatemuddwa baagala bwenkanya
Ab’oluganda lw’omusajja Ivan Oloya abadde omusomesa wa Seeta High eyattiddwa ku kyaalo Bbajjo Mukono municipality mu kiro ekikeesa olw’omukaaga baagala buli kisoboka kikolebwe okuzuula okuzuula ekitufu ku nfa ya muntu waabwe.Omusajja ono kigambibwa nti abaamutta baamukuba ka bulooka ku mutwe bweyali atambula mu budde obwekiroBagamba nti omu ku baamutta yaliko omuyizi ku ssomero lino, kyoka bino poliisi etugambye nti tenabizuulaOmulambo gwe leero gusabiddwa , nga tanatwalibwa Kitgum gyagenda okuziikibwa.