Ab’obutonde bagamba gavumenti eremeddwa okulwanyisa akaveera
Abavunanyizibwa ku butonde banenyezza gavumenti kulw'okulemererwa okuwangula olutalo oluwera akaveera mu Ggwanga. Bagamba obunafu obugyiremesezza okuwangula olutalo luno buli mu mateeka. Jjukira nti guno omulundi gw'akubiri nga gavumenti evaayo newera obuveera kyokka newatabaawo kikolebwa.