22 Covid abakutte e Busia, abasawo tebalina bikozesebwa
E Busia, abasawo bali mu kusoberwa kubanga ebikozesebwa okwetangira obulwadde nga bakola emirimu bikendeeredde ddala. Ebikozesebwa nga obukooti obwambalwa omulundi ogumu bu PPE, boots, masiki ne gloves kati bya kuwammanta. E Busia wokka, abasawo n’abajjanjabi ababayambako 22 bazuuliddwamu Covid-19 ekivuddeko abamu ku bannaabwe okwewala amalwaliro gye balina okuddukanyiza emirimu.