OMUKUUMI ATIDDWA: Asoose kuwamba bakozi ku ssundiro ly’amafuta w’akuuma
E Kijabijjo mu munisipaali y’e Kira waliwo omuserikale wa kampuni y’obwannanyini enkuumi akubiddwa amasasi agamutiddewo. Ono abade mukuumi ku ssundiro ly’amafuta erya AS energy, nga kigambibwa aliko abakozi b’essundiro lino babade atadde ku mudumu gw’emmundu okumuwa sente. Omuserikale asoose okujja okuyamba omukuumi ono amukubye amasasi wabula ye asimattuse.