Olukiiko lwa NUP luyiise, bannakibiina bakukkulumidde OC w’e Busaana okubeefuulira
Bannakibiina ki NUP mu disitulikiti ye Kayunga batabukidde OC wa Poliisi ye Busaana Geoffrey Okuta gwe balumiriza okubawa olukusa okutuuza olukiiko lwaabwe kyokka oluvannbyuma n'abeefuulira. Olukiiko luno lubadde lwabakulembeze abalonde ab'ekibiina mu kitundu kino era ga lugendereddwamu okubabangula ku buvunaanyizibwa bwe boolekedde.Olukiiko luno lumaze ne lugwa butaka .