Obunkenke e Serere: Waliwo ekitta-bakazi ekibaluseewo
Abatuuze mu disitulikiti ye Serere basula ku tebuukye olw’ettemu erisusse mu kitundu kyabwe n'obumenyi bwamateeka obulala. Tutegeezeddwa nti ebikolwa bino bisinze kukolebwa ku bakazi n’abaana abawala. Ekisinze okubeeraliikiriza kwekuba nti ab'ebyokwerinda tebakoze kimala okulaba ng'ebikolwa bino birinnyibwa ku nfeete.