OMUZANNYO GW’OKUBAKA: Waliwo abaagala ab’akakiiko akassibwawo balekulire
Waliwo akabinja k’abakiise ba kkiraabu z’okubaka akaagala abaateekebwawo okuddaabuulula omuzannyo guno balekulire olw'engeri yekiboggwe gye bakolamu emirimu. Bano bataddeyo okusaba kuno eri abatwala omuzannyo mu nsi yonna aba International Netball Federation wamu n’abakulembeze b’emizannyo ab’enjawulo mu ggwanga.