Luyimbazi Nalukoola atutteyo okujulira kwe
Munnakibiina ki NUP Elias Luyimbazi Nalukoola addukide mu kkooti ejjulirwaamu nga awakanya ensala ya kkooti enkulu eyasazaamu obuwanguzi bwe ng’omubaka wa Kawempe North omulonde.Mu kwewozaako, Nalukoola alaze kkooti ensonga 14 kw'asinzide okuwakanya ensala y’omulamuzi Bernad Namanya eyalagira okulonda kwa Kawempe North okuddibwemu.Kkooti enkulu mu Kampala yasazaamu obuwanguzi bwa Nnalukoola ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North nga 26 Ogwokutaano. Kino kyajja oluvannyuma lwa Munna NRM Faridah Nambi okuddukira mu kkooti nga yeemulugunya nti obululu bw'abantu abasukka mu mutwalo gumu mu kakaaga tebwabalwa olw’emivuyo egyali mu bifo 14 ebironderwamu.