Okwonoona ebintu bya gavumenti, 17 baguddwako gwa butujju
Abavubuka 17 nga abasinga ku bano bakungaanya byuma bikadde oba scrup basimbiddwa mu kkooti esookerwako e Nakawa nga bavunaanibwa gwa kwonoona miti kwosa waya z’amasanyalaze.Mu bano mubaddemu n’omuserikale wa poliisi era okukkakkana nga bagguddwako omusango gwa butujju.Abavunaanwa kuliko n’omuserikale wa poliisi Emmanuale Kato ng’ono muvuzi wa Kabangali ya poliisi e Mukono. Kuno kubaddeko ne munnansi wa India Yusuf Abdul Razak ng’ono yeeyita Yesu kw'ossa Munnakenya amanyiddwa nga Fredrick Otieno.Ku Bannayuganda kubaddeko Joseph Semanda, Josephat Muhumuza Yasin Mutyaba n'abalala era omulamuzi Andrew Katurubuki y'abategeezezza nga bwe bavunaanwa ogw'obutujju.