EMPAKA ZA BADMINTON: India yeetisse eza Kampala International challenge
Uganda ewangudde omudaali gumu nga gwa feeza mu mpaka za Uganda International badminton Championships ezikomekkerezeddwa olwaleero ku MTN Arena e Lugogo. Guno guwanguddwa Fadillah Shamika ne Tracy Naluwooza mu luzannya lw’ababiri luyite doubles. Abazannyi okuva e Buyindi be beefuze empaka zino era bawangudde emidaali gya zaabu ku mpaka z’abassekinoomu.