Waliwo ekiveera ku lw'e Gayaza ekibadde kiteeberezebwa okubaamu bbomu
Wabadewo obunkenke n’akalippagano k’ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okuda e Gayaza mu bitundu by’e Kyebando-Kanyanya oluvanyuma lw’owa bodaboda okusuula ekiveera ekirimu ebintu ebitategeerekeka ekireetedde abantu okusattira nti yandiba bbomu.
Bano banguye okutemya ku poliisi nayo ezze n’embwa zaayo ezikonga olusu okukakkana nga mukiveera mulimu pamper z’abaana enkozese.