Abagaana okuwaayo ettaka balwisiizza okukola enguudo mu Kampala
Abakulira ekibuga Kampala bagamba nti abantu abakyagaanye okuwaayo ettaka okuyisaako enguudo , balwisizza Pulojekiti z’okugonza eby’entambula mu bitundu bya kampala Mukono,Mpigi ne Wakiso.Bano bagamba nti abantu abalina ettaka kwebayina okugaziyiriza enguudo zino bangi bakyeremye okuliwaayo ku bwereere, kyoka nga n’ekitongole tekirina mutemwa gwa kuliyirira bantu nga bano.Kati bano baagala abantu beekube mu mutima , bakkirize okuwaayo ettaka , ku lw’enkulakukana egasiza abantu awamu..