Ssegirinya ne Ssewanyana bayimbuddwa ku kakalu ka bukadde 20
Kooti enkulu e Masaka eyimbudde ababaka ba Palamenti okuli Allan Ssewanyana ne Mohammed Ssegirinya ku kakalu kaayo ku misango egyibavunaanibwa egy’butujju n’obutemu.
Okusaba kuno kubadde mumaaso gw’omulamuzi Victoria Nakintu nga ono abatadde kakalu ka nsimbi obukadde 20 buli omu ezitali z’abuliwo nebagyibwako ne paasipooti zaabwe, ate ababeeyimiridde basabiddwa obukadde 100 era ezitali zaabuliwo.
Ababeeyimiridde kubaddeko ababaka Ssemujju Nganda, Veronica Nanyondo ne Francis Katabaazi nga bano bebeyimiriridde Allan Ssewanyana ate kulwa Ssegirinya nebaleeta ababaka Francis Zzaake ,Christine Ndiwalana ne mugandawe Robert Walugembe Mawanda.
Omusango guno ba bapuliida baabwe okuli Elias Lukwago ne Shamim Malende bebaguli mu mitambo.