Ssaabawandiisi w'ekyalo yeetugidde mu nimiro
Poliisi mu disitulikiti y'e Mpigi etandise okunoonyereza ku nfa y'omuwandiisi w'ekyalo Ssemukombe mu muluka gw'e Kawumba mu ggombolola y'e Buwama. Ono asangiddwa omugwa mu bulago nga afukamidde - ono era aliko ebbaluwa gyeyalese awandiise.