Omuggalo gulemesezza abalwadde ba nnalubiri okufuna omusaayi e Luweero
Bazadde b’abaana abatawanyizibwa obulwadde bwa nalubiri bebamu ku bekokola omuggalo olw’okuzibuwaza entambula bangi n’ebatasobola kutuuka mu malwaliro mu budde era abamu bafudde. Ku ddwaliro lya Luwero tukitegedde nti abalwadde ba nalubiri abaali bafunirawo obujanjabi abasoba mu 12 bebaakafa mu biseera by’omuggalo. Eddwaliro lino likola ku balwadde ba nalubiri abali eyo mu kikumi kyoka ng’okusoomoza ababajjanjaba kwebasanga kwa ntambula ebalemesa n’okukima omusaayi e Kampala abalwadde nebatuuka nga teguliiwo.