OKUZIMBA AKATALE K'E MPIGI :Abasuubuzi bafunye esuubi
Akatale ka Mpigi Central Market akamaze ebbanga nga kazuuzumbya abakulembeze n'abasuubuzi emitwe kyaddaaki essuubi lirabise ery'okukazimba okukafuula ak’omulembe oluvanyuma lwa town council y’e Mpigi okukirizibwa okwewola ensimbi obukadde 75 okugula ettaka okukagaziya. Omubaka wa Mawokota North Hillary Kiyaga atubUulidde nti oluvanyuma lw’okusaba kuno okukirizibwa, okuzimba kwakutandikirawo kuba enteekateeka zona ziwedde ra nga okuzimbibwa kaakumalawo obuwumbi 30.