Okutumbula ebyenjigiriza e Mpigi, bannanyini masomero basisinkanye
Bannanyini masomero, abagakulira n’abakulira eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Mpigi basisinkanye okukuba tooki mu nzirukanya y’amasomero gano n’engeri y’okutumbulamu eby’enjigiriza. Bano baliko ensonga zebategeezeza abakulu ezibalemesa okuddukanya obulungi gw’okusomesa abaana b’eggwanga mu kitundu kyabwe naddala omusolo oguyitiridde.