OKUSIWUUKA EMPISA MU BAKUZE MU MYAKA: Kizuuse ng'abakyala abakulu bawasa obulenzi obuto
Okunoonyereza okukoleddwa ebitongole binnakyewa bizudde nga abakazi abakuze mu myaka bwebatandise okuwasa abalenzi abatanetuuka.
Okunoonyereza kuno okw’akawunguko kwakoleddwa aba Uganda Child Rights NGO Network mu district y’e Kyotera n’ebakizuula nga abaana abalenzi abali mu maka g’abakyala naddala banakyeyombekedde era nga bafuuka baami.
Baagala gavumenti ensonga eno egyitwale ng’enkulu okuginoonyerezako kutandike kuba kino kyabulabe.