OKUBALA ABA BODABODA MU KAMPALA : Kugenda kukolebwa kumala nnaku 14
KCCA ne minisitule y’eby’entambula batongozza omulimu gw’okubala pikipiki zonna eziri mu Kampala - okusinziira ku Yinginiya David Sali Luyimbaazi, amyuka akulira ekibuga Kampala, ekigendererwa kwekumanya omuwendo gwa boda boda eziri mu kibuga nebannanyini zo, okusobola okwawula abatuufu n’abakyamu mu mulimu guno. Enteekateeka eno yegasse ku mulimu gw’okuwandiisa boda boda zonna mu Kampala ogugenda mu maaso. Tutuuseeko mu bifo ebimu ebyabadde birambikiddwa okubaliramu aba boda boda bano nga terina kigenda mu maaso wadde abakozi ba KCCA nga tebaliiyo.