OBUTAKKAANYA MU BASIRAAMU E JINJA : Ebiwayi 2 bikaayanira ttaka
Abavubuka abegattira mu kibiina ki Jinja Muslim Club, bakade kulumba abatwala omuzikiti ne ssomero erisangibwa ku Kavule Cresent, nga bagamba nti ettaka kwebiri labwe, wabula si lya Uganda Muslim Supreme Council. Bino webigyidde nga abatwala omuzikiti guno batandise enteekateeka ez’okuzimba omuzikiti omulala, aba Jinja Muslim Clubkyebawakanya nti liizi eyawebwa abantu bano ku ttaka lino yaggwako nabwekityo basanye okulyamuka. Ettaka lino lyali mu mikino gy’abayindi kyokka bwebaagobwa mu ggwanga neridda mu mikono gy’abasiraamu abaawamu.