OBULAMU: Okusoba mu baana kyeki?
Bangi omukazi bwazaala naddala wano mu Buganda baliko obulombolombo bwebakola mbu baziyiza mwana kusoba era nga kino bawanuuza nti kisobola n’okuviirako omwana okufa.
Wano wetwebuuliza okusoba kyeki? - abasawo batubuulidde nti bino sibituufu wabula ndowooza eri mu bantu gyebazze bagoberera.
Mu bulamu olwaleero twogeddeko n’abantu ab’enjawulo okwongera okumanya ku mbeera eno.